powered by freefind.com
     
REQUEST PICTURES
THE SHROUD
PROPHECIES
"THE GIFT "
Tracts
English
Acholi
French
Spanish
Lugandan
Swahili
Kinyarwandan
"JESUS IS ALIVE AND KNOWS YOUR NAME"
Tracts
English
Spanish
French
Swahili
Urdu
Arabic
Ewe
Kinyarwandan
Request Tracts
More
OJP America
Israel
OJP in Rwanda
Links
Support Israel
Char Tierney's Twitter
Silvana Lupetti's Twitter
Pictures Testimonies Twitter
Jesus, painted from the Shroud of Turin by Ariel Aggemian

For God... made his light shine
in our hearts to give us the light
of the knowledge of the glory of God
in the face of Jesus Christ

OPERATION:
JESUS PICTURES

Free pictures of Jesus to the world

EKIRABO

Byawandikibwa Silvana Lupetti

Kimu ku bintu eby'omugaso era ebilungi, okumanya nti Yesu agobelera eby'obulamu bwaffe okuva nga tukyali mbuto mu nda za ba maama okutusa n'oluvanyuma olw'okufa kwaffe. Oyo ye Katonda. Katonda ow'amaanyi, abeerawo buli wammu talina wakoma, era afaayo.

Fumiitiriza ku mukwano gwa Yesu okutulaba nga tukyali mbuto, nga tuli baana bato, nga tuli bavubuka, nga tuli bantu bakulu. Era bw'aba ng'ayagadde natulaba nga tuli bakadde era ate n'oluvanyuma olw'okufa. Amanyi amagya n'amadda agw'obuwuumbi bw'abantu. Teyelabiramu n'ommu muffe.

Ayagala buli ommu mu ngeri ey'ekitalo. Atulabilira ngabwe tulabilira abaana baffe benyini. asanyukira okulaba okwagala n'ebilungi wakati muffe, okutulaba ngabwe tukula ne tutonda era ate netuzimba nga tukola ebelungi munsi etwitolodde.

Naye n'ekibi ekiri mu ffe akilaba bwe kiruma,nekizimbulura ebitwetolodde, famile zaffe, n'emikwano gyaffe. Alaba obubi bw'okweyagaliza. Ekyo kibi kyaffe ekitutwala mu kuzikirira ne kufa.

Abeerawo mu buli kaseera akayita kunsi n'alaba obutemu obukolebwa kunsi eno, okwetuga, ebikolwa byonna eby'entalo n'obutagalana kulw'ekyo omwoyo gwe ne gumenyeka ennyo.

Yesu ayagala tubeere n'eddembe wammu na buli kitonde kyonna. Buli lunaku, buli kadde, abeera wammu na ffe, alaba buli kimu, ekilungi oba ekibi ekibeerawo mu bulamu bwaffe.

Atukabirira. Asindika omwoyo gwe ne ba Malayika be nebatuyamba, ne batukulembera ku mutonzi waffe. Yesu yatusalira ekkubo bwe yali ku musalaba. Akaba amaziga kulw'okulumizibwa kwaffe ne kulw'okunyigirizibwa Setaani, era akora buli kimu okutuwonya, nga walimu n'okuwaayo okusiinga byonna, okuwaayo obulamu bwe bwenyini.

Tetuli ffekka. Ali wammu naffe, wakati muffe. Ye kkubo, ye amazima n'obulamu. Era ye kkubo ery'eddembe. Nga bw'ofumiitiriza ku Yesu oyo yazalibwa neyefuura omuntu ku lwaffe jukira nti gyali mulamu. Ayiinza kwogera era agya yogera nagwe.

Anaddamu okukaba kwo era agya kulaga ekirubirirwa ne kyayagaliza ubulamu bwo ne buli kyonna kye yatonda. TAATA, webale ennyo okutuwa Yesu ng'ekirabo, naffe katukuwe omukwano gwaffe, okwagala kwaffe, n'ekyetaago kyaffe ekyo kutambulira wammu nagwe mu buli kaseera akayita mu bulamu bwaffe.

Thanks be to God for his unspeakable gift! 2 Corinthians 9:15